1 Chronicles 1

Ebyafaayo by’Okuzaalibwa kwa Adamu Okutuuka ku Ibulayimu

1 aAdamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;
2 bEnosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;
3 cYaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka,
Lameka n’azaala Nuuwa.

4 dNuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
5Batabani ba Yafeesi baali:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6Batabani ba Gomeri baali:
Asukenaazi, ne Difasi
Difasi era ye Lifasi; laba mu Lub 10:3
ne Togaluma.
7Batabani ba Yavani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.
8Batabani ba Kaamu baali:
Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti
Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
, ne Kanani.
9Batabani ba Kuusi baali:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka.
Ne batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
10Kuusi n’azaala
Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.
11Mizulayimu n’azaala
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu;
12ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.
13Kanani n’azaala
Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi;
14n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi; 15n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini; 16n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.
17Batabani ba Seemu baali:
Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
Ate batabani ba Alamu baali:
Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.
Meseki era ye Masi; laba mu Lub 10:23

18Alupakusaadi n’azaala Seera,
Seera n’azaala Eberi.
19Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi,
erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.
20Yokutaani n’azaala
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;
21ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 22ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba; 23ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.

24 hEnda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,
25Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.
26Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,
27Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.
28Batabani ba Ibulayimu baali
Isaaka ne Isimayiri.
29Luno lwe lulyo lwabwe:
Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
30ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema, 31ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.

Ezadde lya Ketula

32 iBatabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali
Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
Ate batabani ba Yokusaani baali
Seeba ne Dedani.
33Batabani ba Midiyaani baali
Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.

Ezadde lya Sala

34 jIbulayimu n’azaala Isaaka;
batabani ba Isaaka baali
Esawu ne Isirayiri.
35 kBatabani ba Esawu baali
Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
36 lBatabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi,
ne Timuna ne Amaleki.
37 mBatabani ba Leweri baali
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.
38Batabani ba Seyiri baali
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
39Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.
40 nBatabani ba Sobali baali
Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu.
Ne batabani ba Zibyoni baali
Aya ne Ana.
41Mutabani wa Ana yali
Disoni,
batabani ba Disoni nga be ba
Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
42Batabani ba Ezeri baali
Birukani, ne Zaavani ne Yaakani;
batabani ba Disani baali
Uzi ne Alani.

Bakabaka ba Edomu

43Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga:
Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.
44Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.
45 oYokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.
46Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
47Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
48Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.
49Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
50Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu. 51Kadadi naye n’afa.

Abakungu ba Edomu baali
Timuna, ne Aliya, Yesesi,
52ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni, 53ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali, 54ne Magudyeri, ne Iramu.
Abo be baali abakungu ba Edomu.
Copyright information for LugEEEE